1 Thessalonians 4:15-17

15 aKubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa. 16 bKubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira, 17 cnaffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
Copyright information for LugEEEE